Lyrics

(Retro Records) (Amaziga ge nkaabye gamala) (Gamala ge nkaabye gamala) (Amaziga ge nkaabye gamala) (eeh) (Gamala ge nkaabye gamala) (aah) Nakkakkana nafuna we ntuula Nsobole okwetegereza nga ŋŋamba Nti osanga kye ndaba kiringa ekifu Nannyogoga nga na buli kafunda mwe mpita Bakukulisa kunneewala Katugambe kyenali ndaba eno mu nsi yange Ebigambo bingi byayita Nga tewali kisaasira nze Omutima ogwange ogwalumwa, oh no Kati njoya kwekweka Amanya kukyusa nfuneyo amapya Ŋŋende ku kazinga ewatali anjeeya Osanga oba embeera eriteeka Byetwalina bigenze n'ekyeya Buli kigenda mu maaso ssikyebeera Ssirinaawo kya kwekwasa nzikirizza Wansala, wansala Wansala, wansala Ebintu byewalinga weeyama Wabireka awo nototya N'ogenda n'ofunayo omupya Kansuubire nti wakkuta Olinywerera kw'oyo nnyabula Nze kanzikirize nti wansala Wansala, wansala (Amaziga ge nkaabye gamala) (Gamala ge nkaabye gamala (hmmm) (Amaziga ge nkaabye gamala) (gamala) (Gamala ge nkaabye gamala) Bwe nakukwasa obwesigwa Mu bye nasuubira temwali kwejjusa Kati ndi mu maziga gwe eyo weesesa Let me hope gw'olina toomuzannyise Kino ne mu byafaayo kirisomebwaako Ntinno waabaayo omuntu, eyasuula eyali amufaako N'essuubi ne ligwawo ooh oh Nkucongratulatinga, bravo Ne gwe walonda akufittinga byebyo Leka nsuubire! Taliwunzikira mu nsi eno eyange Agambe wansala Wansala, wansala Ebintu byewalinga weeyama Wabireka awo nototya N'ogenda n'ofunayo omupya (wansala) Kansuubire nti wakkuta Olinywerera kw'oyo nnyabula Nze kanzikirize nti wansala Wansala, wansala
Lyrics powered by www.musixmatch.com
instagramSharePathic_arrow_out