Lyrics

Munange nondekawo mba nsigadde mubanga (bambi manya) Gwe muntu gwemalirako endowooza n'omutima gwange (weka!) Nondekawo oh oh, mbasigade mubanga (bambi manya) Gwe muntu gwemalirako endowooza n'omutima gwange (weka!) Bambi Tovawooo, tondekangaaa Ndabye nekyegyegyo mpambatiranga Waliwo omukwano lwegumpitamu Bwoba toliwano nyongobera Naye Bwoba Wendi megereramu Tovanga Wendi njakuzirika Munange maama nebwembuzabuza amaziga gongera kufukumuka Nebwendoowoza nti Bakututeko Nze era emere enema okumira Kale mburirako byoyagala Guno omukwano gweninawo Njagala nkuwe nga sematira Otwale nebwomalawo Munange nondekawo mba nsigadde mubanga (bambi manya) Gwe muntu gwemalirako endowooza n'omutima gwange (weka!) Nondekawo oh oh, mbasigade mubanga (bambi manya) Gwe muntu gwemalirako endowooza n'omutima gwange (weka!) Mukwano gwange manya Sirina ampumuliza Ku mwoyo era bwolivawo ndifabufi munange! Gwe gwendowoozako, yegwe amumbirira Nga mpurira nkwagala nyo, nkoletya banange Nze love yo gyenina, buli kadde nyogerako Era sirikurekerera nesiga kinange Nkwatako, oh oh, oh Mpulira ngenda kugwa Ngambako nti oba onjagalanyo olinga nze Bwobawano, oh oh, oh Mpulira mpomerera Bwovawano oh oh Mpungamu mba nga nte Nebajanga bangi nembambuza Nga naye nasimba emirandira Sibawa nabuude mbagoba mubwangu tebavako kalunsambulira Munange nondekawo mba nsigadde mubanga (bambi manya) Gwe muntu gwemalirako endowooza n'omutima gwange (weka!) Nondekawo oh oh, mbasigade mubanga (bambi manya) Gwe muntu gwemalirako endowooza n'omutima gwange Teri bwova wendi ngamatide, patta oleka nkutuffu Mbera nempolokota kolokota nga mumpale omuli ensanafu Bambi tonjiwanga, nze gwe gwendiko Gold n'amasanga, byona bya kito Nebwempalapalanya, ndikumutego gwo nyabo ondide Akutunurira gwe mpalana, temukanula maaso tender yange Kati mwenyezako, bakontole emimiro Jangu wano nderaako, basongole emimwa Lwolindekawo obwo bubba butwa siriwona ndiba mpedde Bwendisimattuka ekyokufa, siriddira mukwano ndiba ntadde (ooh ooh) Munange nondekawo mba nsigadde mubanga (bambi manya) Gwe muntu gwemalirako endowooza n'omutima gwange (weka!) Nondekawo oh oh, mbasigade mubanga (bambi manya) Gwe muntu gwemalirako endowooza n'omutima gwange (weka!)
Writer(s): David Lutalo Lyrics powered by www.musixmatch.com
instagramSharePathic_arrow_out